Buganda YIYO, Buganda YANGE
11/02/2026
đ ZINUNULA OMUNAKU.
ESSULA 3: ZINUNULA BUBEEFUKA NâEMBOGO
NGA tweyongerayo mu lugendo olwatutolosa eka, omusajja eyatuli mu maaso twalaba ngâalina kyeyeekengera ne tuyimirira. Twagenda okulaba ngâagalamira, tuba tukyasamaaliridde, nga mu maaso gye twali tulaga efulumyeyo embogo eyakula nâegangayira, anti amayembe gonna nga gagisibaganye. Naffe ne tugalamira ne tulambaala ngâabafudde.
Twalowoozanga nti waliwo embogo emu, kazzi nga ziri bbiri. Bwe zaalaba nga tezitulaba, ne zijja nga zitunoonya. Bwe zaatuggukako ne zituwunyaawunyako ate ne zidda ku bbali ne zigalamira ne zituteega. Omusajja yalabaakanyego kalamuddwa akasiriikiriro, nâayimusa ku mutwe alabe oba kiri mulaala. Aba atuula kazzi embogo eri awo obwedda egamwegese, kwe kunaawuuka eri ngâenjuki nâemutunga ejjembe mu mbiriizi nâemusitula nâemusinsimulira mu bbanga, nâemutujja ennume yâekigwo yavuumiramu omulundi gumu nga lumalamu amazzi naye yafiira mu bulumi obutagambika!
Akasiriikiriro kaddawo naye nalaba wayiseewo ebbanga ggwanvu ddala ngampaawo kakuba, ne njagala nsitule ku mutwe ndabe oba embogo zigenze.Namagalaza amatu nga wonna cce, kwe kutuula ne mmagamaga nga siraba mbogo, ne nsituka. Mba nsituka ne mpulira Mikolo ngâaleekaana nti, âGwa! ofa!â Okukyuka nti ngâembogo eri kumpi nnyo okuntuukako ejja bukula. Ne nneewuttula kyabugazi ne njiringita ne nneevuunika ereme kunsogga nga ndaba, olwo nno ngâembuuse. Bwe yadda nâesenseza ejjembe wansi wâolubuto lwange. Eba ensitula, ne njiringita ne ndivaako ne nkola bwentyo emirundi esatu naye ku gwokuna ne ndaalira ku kikolo kyâakati. Yambinula nâemberula nâenkasuka mu bbanga, nâetega amayembe ngâerindirira nzire ngeetonnyeko gankole ogwa walugali.
Kyagibuukako, yakanda kutega mayembe na kulindirira mbu nzira, nga bwereere nze nfuuse musu gwâe Kanyanya âMugenzitazzeâ. Tekuba kutya na nsisi, nandikubye nâenkwawa, anti embogo bwe yankasuka waggulu nagwa ku matabi gâobuti agaali gaboyeddwa ebibowabowa nâebbombo ne ngalamira okwo bugazi nga siyinza kwenyeenya wadde okwekyusa olwâokutya okusumattuka okugwa wansi. Enjuba yali eri ku ggulu eryetadde ngâeyaka omusana ogwansiika ne gumbabira ne mbugujja ne nkamala nze nga buli kaseera mponga buwonzi Mikolo aleme kwenyeenya kumumalirako kiruyi. We nali nagiwuliranga ngâefuuwa. Mba ndi ku kibanyi kyange okwo, nga ndaba ssebukuule wâomusota ajja akkira ku ttabi lyâomuti eryali lireebeetera ku busammambiro bwâakati kwe nali ndaalidde. Ssessota bwe yali ali kumpi okutuukira ddala ku makoola agâoku busanso bwâettabi, ne yeezinga amakata nâasirika, olwo nno nâasigalira kutongeza nnimi. Nga wayiseewo ekiseera ngâomuntu kyâatambuliramu akatalatala akatono nâakamalako, oba gaali maanyi ga mpewo eyakunta oba akatabi kaatendewererwa obuzito bwâeryâe Kalungu ne simanya, anti nagenda okuwulira ngâessota linneegonnomola ku bigere. E e-e-e ne njula okufa ensisi. Bwe nateebanga okwenyeenya, nti limbojja ne ĹĹuma nagenda okuwulira nga lyezingulula mpola ne lijja nga lintambula, liiryo ku bisambi, ku lubuto, ku kifuba, tugatunuulaganyizza. Olwo nno okugwa nâembogo ne mbyerabira, ne ndowooza gusota ogwo gwokka, kwe kugubaka mu bulago ne nsindika eri ekinene. Nagenda okuwulira nga gwewuttudde wansi. Eyo gye gwalaga mpozzi ye yali embogo eyookubiri, yalaba gugirumba nâeyotta kubanga nawulira akabuguutano ngâedduka. Nze olwâokwenyeenya ennyo nga nsindika ogusota, ate nga nâebibowabowa byayidde dda, byo kwe kwesenda ne bimpa ekyanya. Wamma ggwe ne ĹĹenda yiriyiri okuwummula nga nekkase ku mugongo gwâembogo nange nno ngyebagazze mabega ekintu kye saayagala. Ekyekango nga bwe kitamanya muzira, embogo bwe yalaba efunye omwebagazi gwâeteeyagalidde, nâetyekula emisinde nâegenda anti ngâebuuka ebibanda! Nze olwo ne njiringita!
10/02/2026
đ ZINUNULA OMUNAKU
ESSULA 2: NNETONNYA MU NSI
EBIGAMBO bisirikitu ddala ebyawambira ne bisimba amakanda era ne bitebenkera mu mmeeme yange, nga biva mu ebyo jjajjange bye yannombojjera, ebyaliwo mu kuzaalibwa kwange. Nazaalibwa mu nsi yâe Tigati mu ssaza lyâe Kitoma, mu Ggombolola ya Bagayakyezinze, ku kyalo Ndolombe, mu kiseera Ssekabaka Kondooba Ndagu Balunginsiiti mwe yaggyira omukono mu ngabo, mutabani we Zigulensigo Kkonkomebbi Kitawongwa amale amuddire mu bigere, enjuba bwe yali egolooba ngâakasendabazaana keememula era ngâezzooba lyakamala mbale kasookedde lyewanika mu lubaale. Ekyeya ekyayaka ppereketya, ekyayandaakalaza ensi yonna nâerakasira era ekyakooza abantu bonna akagiri bwe kyali kisendeekerezebwa nga kiri kumpi nâokulabibwa mu nkoona, enjala Tolyamunno, Kiryankondwe, Kisannumbu, Ssaanya, Gulikunfuuzi, Kakutiya, Kiryansanafu, okuggyako eno eya jjo lyâabalamu Gwomuwaddaakatebe, bwe zaali zimaze okubaawo era olutabaalo lwe Zinaddookunywa nga lwakadda. Mu maliiri gâolunaku olwo, kalenge eggulu yalitimba era ne ssuulwe yali yagudde mungi ekiro. Kyokka mu kiseera kyâakalasamayanzi obudde bwali bwetadde bulungi era ngâakasana keemulisa bulala awo ngâengajaba we zitandikira okulangaala bwe ziba nga zirima. Okuva mu ggwango okutuuka mu malya gâebyemisana, enkuba egulansigo yafukumukamu kubanga omwaka omukazi gwali kumpi okukkirira, era okuva mu kiseera ekyo okutuukira ddala mu makola gâebyeggulo obudde bwali bwa kitto era ekinnyikaggobe, ngâeggulu lyonna kazigizigi alirippyeeko era nga linyiibanyiiba. Naye nno olunywankoko olwawandaggirira nga ndi kumpi ddala okwetondeka mu nsi, eggulu lwe lwalyozaako ebire. Mu kiseera kyennyini kye nagoberamu mu nsi eno, akasana kaali kaaka bulungi era katangalijja ku bikoola byâebimera. Mmange ne bajjajjange baasanyuka nnyo nga nzaaliddwa kuba kitange bwe yali afa yalaama nti, âmukazi wange ali olubuto bwâazaalanga ânnaatuukiriraâ yâansikiranga; naye bwâazalanga âgannemereddeâ, omu ku baana ba baganda bange ansikirangaâ. Ekintu ekitaasanyusa bajjajja bange taata okusikirwa ataviiridde ddala mu ntumbwe ze.
AMASIRO GE KASUBI đĽ°đ
MUSAJJA WA KABAKA OBADDE OMUMANYI?
08/02/2026
Mikwano mugyebaleko emirimu.
Njagala okubategeza nti gwe ayagala T-shirt ya Buganda Yiyo Buganda Yange weziiri.
Kola order nga oyita ku WhatsApp number eno 0754425528 okumanya ebisingawo.
08/02/2026
GAZIYA OKUMANYA KWO ne BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE
GAZIYA OKUMANYA Ptr1. Bibino byobadde tomanyi ku Ssekabaka Muteesa I. Enjoy the videos and music you love, upload original content, and share it all with friends, family, and the world on YouTube.
⨠EKIPYA KIKINO â¨
â"GAZIYA OKUMANYA KWO" đ ne Buganda Yiyo, Buganda Yange đ
âTugenda kunyumirwa nga bwetuyiga:
â
Ebyafaayo byaffe đ°
â
Empisa nâennono entuufu âď¸
â
Obukulu bwâEkitiibwa kya Buganda đĽ
â
Olulimi lwaffe Oluganda âď¸
âGwe tugoberere ku mikuttu gyaffe gyonna. đ˛
â đĄ
⨠EKIPYA KIKINO â¨
â"GAZIYA OKUMANYA KWO" đ ne Buganda Yiyo, Buganda Yange đ
âTugenda kunyumirwa nga bwetuyiga:
â
Ebyafaayo byaffe đ°
â
Empisa nâennono entuufu âď¸
â
Obukulu bwâEkitiibwa kya Buganda đĽ
â
Olulimi lwaffe Oluganda âď¸
âGwe tugoberere ku mikuttu gyaffe gyonna. đ˛
â đĄ
08/02/2026
AKATABO ZINUNULA OMUNAKU
ESSULA 1: EBYEWUUNYO BYANIRIZA ZINUNULA KU NSI
(Obuto bwange)
Nkaluubirirwa okujjukira byonna ebyandiko mu buto bwange ,omanyi nnayanguwa okwetengerera kuba nnayavula mate ,naye mbu mba ntandika okujja nti akagere mmange n'afa awo nendekebwa awo mulekwa era enfuuzi mu mikono gya bajjajja bange abakulu abamuzaala.
Taata yye teyankubako na mmunye ye .Kubanga yeebikka olubugo mu maaso mukiro ekyakeesa obudde nga wasigadde ennaku mwenda mmale nzaalibwe. Yamala kutaagulwataagulwa nsolo ku kizigo n'emutta enjole ye n'egalamizibwa mu kiwummulo kyayo e Ndolombe. Mu kukungubaga okw'emiranga emingi n'ebiwoobe ebinene ate ebingi kubanga yali mwana nzaalwa nkulize eyo mukitundu ekyo. Bwe nn'esusunkulamu katono ,ne ĹĹenda ne jjajjange omukazi ku lubimbi ,oluusi nnasibanga empummumpu ku lwayi ne nzitwalira jjajja nge omusajja nga nziyita nte era buli mulundi ng'annebaza bwennagenda gyali enkya ennyo nga mmusanga ayimbula emituba gye egy'emisaaala oba ebitentegere , naye bwe nnagendangayo
ng'obudde bw'enyodde nnamusanganga mu kkomagiro ng'akomaga. Bulijjo yasanyuka nga okundaba, nnewankubadde ng'emirundi egimu yankaayuukiranga nga nsobezza , naye okusingira ddala bwe nneesiiganga obuleebo oba bwe nnasaaalimbiranga ku mitanda gy'embugo egiwedde okusaaka ,okutega n'okuttula nga gyanikiddwa,era ng'oluusi n'owe e Mbuya anjogererako. Jjajjange oyo yali musajja eyajjula embazuulu, era nga wazimu yamwambadde nga tatembeka era ng'olwo abanaamusala mmaaso babalwa ku ngalo. Kyokka mubiseera
bya teesuulirangamu jjulume ng'abereega era nga saagasaaga nnyo nga tugasseeko okugerenjula okw'engero . Olumu ku nnaku zensinga okujjukira obulungi ,lwe luulwo lwennasooka okufunirako ensimbi. kino kyajja bwekiti: erinnyo lyannuma nnyo ne limmaza ennaku
enzingu ssatu n'erinjigijja ate nga bwe lintujja era buli lunaku nga jjajja omukazi alinyeenya. Ku lunaku olw'okusatu nnalikuulayo mu kibuno nandagira nditwale mu mukwesese gwe mmese okumpi n'omunnyinnyi nditeeke omwo. Nga wayiseewo olunaku lulamba ne ĹĹenda nningizaamu mu mukwesese nnagenda okulaba nga we nnassa erinnyo waliwo nsimbi ,awo nga njijjayo ,nga ngitunga ku lwayi ,buli muntu eya kyala ng'awaka ngangijjayo nga ngimulaga era nga mmutegeeza n'gemmese bwe yagimpa. Awaka waffe tewaggwanga mpande, amayuuni, balugu, kyetutumula , nnandigoya, amatooke, empindi, empinnamuti, ebikongo, emiboga , ensujju, era n'enva endiirwa ng'essunsa , nnakati, ejjobyo, ettimpa, ddoodo, ejjerengesa, embooge,
enderema, ne ziizi. Bwennagenda nneyongera embavu, ne ĹĹendanga n'abalenzi abo kumuliraano, okulunda embuzi nga nno ndi bbuutiti era nga nkunnumba bute.
Eyo kuttale, gyennayigira okumeggana, okulwanyisa emiggo, okukuba ekimiro, okukuba ggogolo, okukuba embiga,bera n'okwebagala ente. Bwe twabeera nga awaka, twabonga nga enje,twayesanga mu mweso ogw'okuttaka, twakubanga enkuyo, ebikokyo oba okugera engero era nga tulombojja ensozi. Omu ye yasookanga n'agamba nti ,"kiiso kya mbuzi" omulala nagamba nti, "Kabaka"Eyasooka n'ayogera nti, "Mbuulira ensozi,"oli n'ayogera erinnya ly'olusozi. Alombojja bwe yasirikangamu okulowoowoza, ng'agudde. Emirundi egimu, twatunuuliranga abawala nga babaka, nga bazannya kantuntunu, oba nga basiita. Era bo battanga ne nkulimbye oba vvawo ndye.Nze nnayagalanga nnyo okukuba ssekitulege, mu biseera eby'omuggandaalo.
13/01/2026
BANNAMUTIMBAGANO abegatira mu kibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange batongoza omulimu gw'okuteeka amasanyalaze mu Ppookino Nursery School ku mbuga y'Essaza Buddu.
PPOOKINO Omwaami wa Kabaka amulamulirako essaza Buddu oweekitiibwa Jude Muleke akubiriza abantu ba Maasomoogi bulijo okulemerako ku mirimu gyebako.
Ppookino abajjukiza nti omulembe guno gulimu abantu naddala abavubuka abatandika ebintu ebirungi ate ne bitawangala, Oweekitiibwa agambye nti abatandisi be nteekateeka nga zino basanye okukulembeza ebirubirirwa okusobola okunyweza byebakola.
Wabadde akwasibwe ettu ly'ebintu ebigenda okukozesebwa mu kuwayaliringa Omumyuka owa Pookino owokusaatu era avunanyizibwa okukulakulanya Essomero lino Dick Muwanga awabudde abavubuka okukozesa obulungi omutimbagano nga bakola ebyo ebigaasa abantu.
Ssentebe ow'ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange omwaami Munaawa Dan ategeezezza nga webasalawo okukozesa omutimbagano okunyikiza enkola eya Bulungibwansi naddala nga bakwasizako amasomero ga Nursery ku mutenderera gw'Amasaza mu Buganda. Ono awanjagidde abakozesa omutimbagano okuvayo bawagiire enteekateeka eno okusobola okusitula omutindo gwa Masomero ga Nnaasale mu Bwakabaka.
Akulira ekitongole ky'ebyenjigiriza ku Ssaza era Ssentebe owa akakiko akavunanyizibwa ku kulakulanya Essomero lino "Center management committee" Ntula Yiga Steven alaze nga webakyalina obwetavu obwokwongera ku bizimbye abayizi mwebagenda okusomesa.
Ye Omumbejja Nattu Dorothy omuwanika owa Buganda Yiyo Buganda Yange agamba nti batunulidde okusitula omutindo gwe byenjigiriza okwetolola obwakabaka bwa Buganda bonna nga bayitira mukola eya Bulungibwansi.
08/01/2026
SSEKABAKA KYABAGGU KABINULI
Ye Kabaka wa Buganda eyasooka okutegeera nti kawumpuli ava ku mmese n'atuma Katikkiro okuzisaanyawo. Ye yasooka okuliira ku ssowaani n'okunywera ku kikopo, ebyekyuma mu Buganda (oba oli awo ne mu Uganda), okwawukanako ku baamukulembera, abaakozesanga ebibya eby'ebbumba
Ono Yali kabaka wa Buganda wakati wa 1750-1780.Yali kabaka owa 25. Mutabani w'omulangira Musanje Ggolooba owookusatu. Namasole we yali Nabulya Naluggwa .Yalinnya ku Nnamulondo oluvannyuma lwa mukulu we ssekabaka Namuggala okuwayo Namulondo nga yeesimidde. Yatandikawo ekibuga kye ekikulu kye ku kasozi k'eLubya
31/12/2025
OKUJAGUZA EMYAKA ESATU(3)
Click here to claim your Sponsored Listing.