Yahu Blog 256
24/12/2024
!
Edda, mu Buganda n'amawanga amalala, ekitiibwa ky'obulangira ky'abeera nga ky'amaanyi era nga buli muntu eyayitibwanga 'Mulangira', yabeera nga wansa.
Bwenalabye akatambi nga omuyimbi omulangira Suuna alaajanira Mukulu Salim Saleh, enaku yankutte nga newuunya eggwanga lyetulimu.
Ovanga ku nsi erina omuntu nga okubeera obubeezi nti ayına oluganda ku president w'eggwanga eryo naye nga naye alinga government namba.
Abantu bangi, kino tebayinza kumanya bulabe bukirimu kubanga obutamanya babwesiiga nga bizigo. Ebiseera ebisinga babimalira ku bintu bitabagattako, so nga ate omusimbi omwami oyo gw'agaba gwabwe.
Sirinaayo bantu mu Uganda bemanyi berowozaako bokka (selfish) nga bayimbi.
Webuuze, nti omulangira Suuna okugenda aweebwe ssente ewa Salim Saleh, Kiki ennyo ky'akoleddd eggwanga ekyo ekimwawula ku bantu abalala?
Eky'enaku era eky'enyamiza, nti oyo Suuna singa enkya wabeerawo obutali bwenkanya gamba nga omukungu Wa government eyabbye ssente, bw'omugamba nti beerako ky'oyogera, ajja kukugamba nti; "Nze siri mu nabyabufuzi"!
Uganda erabye. Omuyimbi okufuuka ekisekererwa nga sirwakuba nti katonda bw'asazeewo, wabula lwakuba nga omuyimbi ye kenyini mujega, muwutta, musiru. Baddira obutasoma (abamu) nebabugattako obutabeera na magezi mazaale, wama olwo negujabagira nga omunafu azadde kaliira.
Mukifo ky'okussa government ku nninga ebateerewo enkola ennungamu mwebakolera, basaalawo kufuuka basabirizi. Obuyinza n'amaanyi gebalina bagamalira mu kulya mayirungi, Kunywa njaga, na kusabiriza.
Naye mu nsi ez'abagunjufu, oddira otya omuntu nga Salim Saleh nga buli ayına ky'ayagala asaba ye! Olwo ffe abatamumanyi era abatali betegefu kusabiriza, tetuufune mu musolo gwetusasula?
Abantu betaaga ddagala mu malwaliro, enguudo ziri mu mbeera mbi, abasomesa b'eggwanga basasulwa obussente butono, ab'ebyokwerinda, n'obuweereza obulala bungi bubuliramu ddala. Lwaki abantu kinnoomu ate nga batono, balowooza nti bankizo mu gwanga lino?
Eky'ewunyisa, abayimbi bukyanga batandika kusabiriza, embeera era kumpi ekyali mbi gyebali.
Wakati mu mbeera nga ffena twetaaga okubeera obulungi mu nsi yaffe Uganda era nga ffena tuwa omusolo, ba ssebo ne ba nyabo abayimbi, temuli banjawulo nga bwemwagala okukinogaanya.
Ndi mukakafu nti government tebetaaga, olunaku singa lukya Bobi Wine n'ava mu by'obufuzi, lwemuyinza okukakasa nti bali mu kubakozesa bukozesa!
Mwasalawo kusirika nga ebigenda mu maaso mwefudde abatabiraba, embeera bwebatabangukangako temukomangawo eno mu bantu.
Teebereza, singa tekaabadde katambi ako, omuntu bweyandibadde asanze Suuna n'amubuuza gy'abulidde yandimulimbye mbu abaddeyo nga akyafumbira bawagizibe nyimba!
Bayimbi mwe mukimanye nti ezo essente zemusabiriza zaffe. Bwemuba music abalemye mugende ku Kyeeyo nga banamwe abalala Oba mugende mulime!
Ku lwa Katonda n'ensi yange Uganda!
Mark Ghetto Speaker Ayına Ky'agamba
Amooti Omubalanguzi
Click here to claim your Sponsored Listing.
Category
Website
Address
34000
Opening Hours
| Monday | 09:00 - 20:00 |
| Tuesday | 09:00 - 20:00 |
| Wednesday | 09:00 - 20:00 |
| Thursday | 09:00 - 20:00 |
| Friday | 09:00 - 17:00 |
| Saturday | 09:00 - 17:00 |
| Sunday | 09:00 - 17:00 |